Rt. Rev. Bishop Serverus Jjumba abika Muganda waffe *Rev. Fr. Dominic Lubega* abadde aweerereza mu Parish y’e Bukulula. Omukama amuyise mu kiro ekikeesezza leero e Nsambya gy’abadde ajjanjabirwa.
Enkya ku Lwokusatu ajja kutuusibwa e Bukulula ku ssaawa 06.00 ezo muttuntu ate asabirwe mu Missa ku ssaawa 9.00 ez’olweggulo. Wakuziika ku Lwokuna nga 23 February 2023 e Bukalasa. Missa eritandika ku ssaawa 06.00 ezo mu tuntu.
Fr. Edward Ssekabanja Chancellor MD